Luganda

Luganda/Oluganda lwe lulimi olwogerwa Abaganda e Yuganda. Oluganda lukozesebwa nnyo mu masekkati ga Yuganda. Lwe lulimi olukozesebwa okusinga mu nsi ya Yuganda. Olugaganda luva ku linnya ly'Abaganda, abalwogera okuva edda nnyo. Olw'okuba ebibuga ebikulu ebya Yuganda mu myaka gyonna bisangibwa mu Buganda, olulimi lwayambuka nnyo mu byetaagisa mu Yuganda yonna, kuba kati lukozesebwa nnyo mu by'obusuubuzi mu maduuka, ne mu butale obw'enjawulo mu Yuganda.

Abantu abasinga okwogera Oluganda bava mu masekkati ga Yuganda okuli ebifo eby'enjawulo nga Kampala, Mukono, Kayunga, Masaka, Kalangala, Mpigi, Sembabule, n'ebilala.

Ebijuliziddwa