Robert Odongkara

 

Robert Odongkara yazaalibwa nga 2 Ogwomwenda, 1989 mu nga Munnayuganda eyali asamba omupiira gw'ensiimbi, ng'azannyira kiraabu y'e Guinea emannyikiddwa nga Horoya AC nga omukwasi wa ggoolo.

Emirimu gye

Odongkara yasambirako kiraabu ez'enjawulo nga Villa, Uganda Revenue Authority ne Saint George.[1]

Mu Gwekumi, 2018, Odongkara yagenda ku kiraabu yaAdama City mu Kibinja ky'ababinywera ekya Ethiopia oluvannyuma lw'okumaka emyaka musanvu ne Saint George.[2] Mu Gwomunaana, 2019, Odongkara yamaliriza okwegata ku Horoya AC, kundagaano ya myaka ebbiri.[3]

Emirimu ku y'eggwanga

Yasooka okuzannyira ku ttiimu ya Uganda mu 2010,[1] n'alabikako mu mpaka z'okusunsula abaali bagenda okwetaba mu kikopo ky'ensi yonna.[4]Yazannya omupiira gumu mu mpaka z'ekikopo ekiwakanirwa amawanga ga Afrika mu 2017, n'azannya edakiika 90 webaali bakola amaliri ga 1-1 mu bibinja ne Mali.[5][6]

Ebibalo mu mirimu gye

Ku y'eggwanga

Template:Updated[1]

Ttiimu y'eggwanga eya Uganda
Omwaka Emipiira gy'azannye Ggoolo z'ateebye
2010 9 0
2011 1 0
2012 0 0
2013 5 0
2014 6 0
2015 1 0
2016 3 0
2017 2 0
2018 0 0
2019 2 0
Omugatte 29 0

Ebijuliziddwaamu

Ewalala w'oyinza okubiggya

  • Robert Odongkara ku mukutu gwa Soccerway